Bino bibadde mu nsisinkano abakungu mu minisitule y’ebyobulamu eya Uganda ne South Sudan bwe basisinkanye ku kkolero lya East African Medical Vitals erikola ggiraavuzi ezeeyambisibwa mu kujjanjaba e Namanve mu kibangirizi kya bannamakolero.
Dr. Victoria Anib Majur, omuwandiisi wa minisitule y’ebyobulamu mu Southsudan yategeezezza nti balina amalwaliro mu Southsudan naye waliwo ebimu ku bikozesebwa mu kujjanjaba bye batalina nga babijja mu mawanga g’ebweru wa Afrika.
Naye engeri mu Uganda gye waliwo kkampuni ekola ggiraavuzi ezikozesebwa mu kujjanjaba bajja kukozesanga ezo okwewala okusaasaanya ennyo ate nga baanyigiriziddwa nnyo olw’ekirwadde kya Covid 19.
Neville Okuna omukungu okuva mu minisitule y’ebyobulamu mu Uganda akuutidde East African Medical Vitals okuyisa obulungi abakozi kibasobezese okukola ebintu ebiri ku mutindo kubanga bye bakola bikwata ku bulamu.
Ben Kavuya nnannyini kkolero lino yagambye nti basobodde okutondawo emirimu eri abantu abasoba mu 200.