Uganda ne South Sudan baakukwatagana mu kukola ebikozesebwa mu kujjanjaba abantu mu malwaliroMarch 4th 2022

Bino bibadde mu nsisinkano abakungu mu minisitule y’ebyobulamu eya Uganda ne South Sudan bwe basisinkanye ku kkolero lya East African Medical Vitals erikola ggiraavuzi ezeeyambisibwa mu kujjanjaba e Namanve mu kibangirizi kya bannamakolero.

Ben Kavulu (owookubiri ku kkono) nnannyini kkolero lya East African Medical Vitals ng'alaga abakungu ba minisitule y'ebyobulamu mu Uganda ne Southsudan ggiraavuzi ze bakola bwe babadde bakyadde e Namanve. Ku kkono ye Neville Okuna omukungu okuva mu minisitule y'ebyobulamu mu Uganda

Dr. Victoria Anib Majur, omuwandiisi wa minisitule y’ebyobulamu mu Southsudan yategeezezza nti balina amalwaliro mu Southsudan naye waliwo ebimu ku bikozesebwa mu kujjanjaba bye batalina nga babijja mu mawanga g'ebweru wa Afrika.

Naye engeri mu Uganda gye waliwo kkampuni ekola ggiraavuzi ezikozesebwa mu kujjanjaba bajja kukozesanga ezo okwewala okusaasaanya ennyo ate nga baanyigiriziddwa nnyo olw'ekirwadde kya Covid 19.

Wano nga balambula.

Neville Okuna omukungu okuva mu minisitule y’ebyobulamu mu Uganda akuutidde East African Medical Vitals okuyisa obulungi abakozi  kibasobezese okukola ebintu ebiri ku mutindo kubanga bye bakola bikwata ku bulamu.

 Ben Kavuya nnannyini kkolero lino yagambye nti basobodde okutondawo emirimu eri abantu abasoba mu 200.

Okuva ku kono bakungu bye byobuiamu okuva mu Southsudan Dr.Buchany Othom, Ben Kavuya akulira EAMV, Dr.Gibson Natana, Dr.Victoria Anib ne Nevile Okuna nga bava okulambula kkampuni East African Medical Vitals.

All Updates